Elijah Kitaka alumbye siteegi ng’empale agisibizza muguwa n’atabula abadigize

Empale ya Elijah Kitaka emazeeko abadigize ebyewungula mu kivvulu kya Bell Oba Fest ekyamaze ennaku 3.

Elijah Kitaka alumbye siteegi ng’empale agisibizza muguwa n’atabula abadigize
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #Empale #Badigize #Kitaka #Siteegi

Empale ya Elijah Kitaka emazeeko abadigize ebyewungula mu kivvulu kya Bell Oba Fest ekyamaze ennaku 3.

Kino kyabadde ku Jahazi Pier e Munyonyo era Kitaka y’omu ku bayimbi abaacamudde abantu okumala ennaku 3 ng’abalala kwabaddeko; Winnie Nwagi, Bebe Cool, Blu 3, Vinka ne Azawi.

Abawala Abaabaddeyo Nga Banyumirwa.

Abawala Abaabaddeyo Nga Banyumirwa.

Ku Lwomukaaga nga lwe lwali olunaku lw’ekivvulu olwokubiri, Kitaka kwe yayimbira kyokka ennyambala yaleka bangi boogera obutonotono ng’abamu bagamba amanyi ‘fasoni’ ate abalala nti omusajja tagwa eddalu.

Ono yajja ayambadde empale gye yali atemyeko ng’ekoma mu maviivi kyokka ng’asibyeko omuguwa ogwakola ng’omusipi. Aboogezi tebaamuggye ku mulamwa era abadigize yabakubye omuziki.

 

Yagenze okuva ku kazindaalo nga bawoza kimu nti; “Lwa kwambala nga mulalu naye omusajja ayimba...” Ekivvulu kino ekigatta obuwangwa bw’Abagirimaani obw’okunywa omwenge n’obwa kuno kyajjumbiddwa ng’abantu bwe bawuuta ebbidde.

Login to begin your journey to our premium content