OMUYIMBI George Kwesiga (Quex) eyayimba Kachumbali, oluyimba olwakuba ennyo mu kiseera kya Corona, bamummye akazindaalo.
Ono yabadde ku ntujjo y’abaasomerako ku St. Henry’s College Kitovu e Masaka gye batuumye SHACK FEST, eyabadde ku Legends Rugby Grounds e Lugogo.
Abavubuka Nga Bayayaana Okuzina Ne Karole Kasita
Abayimbi okwabadde Kapeke, Karole Kasiita ne Elijah Kitaka olwabadde okulinnya ku siteegi okukuba abadigize omuziki, yalabise ng’atandise okuggwaamu amaanyi.
Quex Bw'afaanana.
Era yalabiddwaako nga yeemulula mpola mpola n’ava we yabadde ayimiridde ng’alinze akazindaalo n’agenda mu banne ne banyumirwa endongo n’okunywamu.
Abaabaddeyo baakoonye endongo nga bwe bawuuta ebbidde nga baagenze okuva mu kifo ng’obusubi babusaanyizzaawo. Karole Kasiita yabacamudde era buli lwe yalinnye ku siteegi ng’abavubuka baagala
okuzinako naye.