Abawagizi ba Gravity kata bamulemese omukolo gw'okwanjula

ABAWAGI b'omuyinbi Gravity Omutujju bamulemesezza omukolo gw'okwanjulwa ogwa mukwano gwe lwa kumupeeka abayimbireyo obuyimba bungi omuli n'Olwokwepiica.

Abawagizi ba Gravity kata bamulemese omukolo gw'okwanjula
By Ssennabulya Baagalayina
Journalists @New Vision
#Gravity Omutujju #Agnes Kansiime. #Tonny Tebakyayika
ABAWAGI b'omuyinbi Gravity Omutujju bamulemesezza omukolo gw'okwanjulwa ogwa mukwano gwe lwa kumupeeka abayimbireyo obuyimba bungi omuli n'Olwokwepiica.
 
Kyaddiridde Gravity okuyimbayo ennyimba ssatu n'abagamba nti zibamala n'okwebaza mikwano gye; Tonny Tebakyayika ne kabiite we Agnes Kansiime.
 
Abawagizi n'okusinga abakyala basakaanyirizza nti abongereyo obulala waakiri ak'okwepiica era DJ n'akasuulamu.
 
Kwanjulwa (95)

Kwanjulwa (95)

 
 
Wano Gravity yakayuukidde DJ nti "tondabisa mwana" era n'agamba nti wadde yeewandiikidde ennyimba nnyingi ne zikwatayo naye y'akeezuula nti talinaamu za mikolo gya kitiibwa nga bayimbi banne.
 
N'abaatulira nti naye zimukwasa ennsonyi okuzibayimbiramu ng'asinziira ku mikolo egy'ekitiibwa.
 
Omutujju obuzibu yabufunidde  ku mukolo gw'omutabuzi wa langi Tonny Tebakyayika owa TEBA PAINT CENTRE mu Kampala.
 

 
Tebakyayika yayanjuddwa Agnes e Fortpotal era Gravity Omutujju y'omu ku bayimbi be yatutteyo bagumuweeserezeko VIBE..
 
Wano omwogezi w'omukolo yamutuuzizza mu katebe n'akatuulamu nga tateredde ng'agamba nti emikolo gituulwamu ba Ssawuliini ng'abenviiri ennange baabaleka bbali nti era n'ekkanzu abadde tagirina ng'eno yagiguze lwa Tonny mukwano gwe.
 
Olwatuddewo ate abakazi ne bamwetayirira omwabadde n'ono nga bamusaba obufaananyi bwa selefu waakiri bamusigazeeko kopi.
 
Gravity n'akatebe kamwokezza nawo teyaluddewo n'aweta.