Kasalabecca

Erinnya Gravity lyali lyange, era nze nasikiriza loodi oyo okutandika okuyimba - Fefe Bussi

Omuyimbi wa 'Rap' ya 'Luga flow' ategeezezza nti ye yaleeta Gravity omutujju mu butaala bwa myusiki n'amulekera n'erinnya lya Gravity kuba lyali lirye.

Erinnya Gravity lyali lyange, era nze nasikiriza loodi oyo okutandika okuyimba - Fefe Bussi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Omuyimbi wa 'Rap' ya 'Luga flow' ategeezezza nti ye yaleeta Gravity omutujju mu butaala bwa myusiki n'amulekera n'erinnya lya Gravity kuba lyali lirye.

Fefe bino yabyogeredde ku yintaviyo ku gumu ku mikutu gya YouTube mwe yagambidde nti nga bakyasoma ku Old Kampala, Gereson Wabuyi (kati Gravity Omutujju) yali muzannyi wa kapiira ate nga Fefe Bussi muyimbi era nti Gravity yatandiikiriza mpola okwegomba myusika wa Fefe Bussi n'atandika n'okumugeegeenya era bw'atyo eky'obwagazi bwa myusiki ne kikula.

Bussi agamba nti n'erinnya Gravity lyali lirye nga y'alikozesa ku siteegi n'alimuwa.

"Gravity lyali linnya lyange ku siteegi. Nzse namusikiriza okuyingira eby'okuyingira nga tukyasomera ku Old Kampala. Yali musambi wa mupiira nga nze ndi muyimbi era ng'abaana banjagala nnyo. Kino kyamuwaliriza okutandika okuyimba. Oluusi yageegeenyanga ennyimba zange olunbaku lwonna," Fefe bwe yategeezezza.

Fefe Bussi yayongeddeko nti eno y'ensonga lwaki Gravity Omutujju amuwa nnyo ekitiibwa.

Tags: