Kasalabecca

Mmotoka etabudde abawagizi ba Spice Diana ne Irene Namatovu.

Mmotoka eyogerwako ekika kya Range Rover nga mmyuufu, ebadde emanyiddwa okubeera eya Spice Diana ng’ebiseera ebisinga gy’avuga naddala ng’agenda ku mikolo egitaliiko bantu bangi. 

Mmotoka etabudde abawagizi ba Spice Diana ne Irene Namatovu.
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

Mmotoka eyogerwako ekika kya Range Rover nga mmyuufu, ebadde emanyiddwa okubeera eya Spice Diana ng’ebiseera ebisinga gy’avuga naddala ng’agenda ku mikolo egitaliiko bantu bangi. 

Wabula ekyaggye abawagizi ba Spice Diana enviiri ku mutwe, kwe kulaba mmotoka erina nnamba puleeti y’emu nga yakyusibwa langi nga Irene Namatovu y’agiriko. 

Abawagizi beebuuza mmotoka zino zijja zitya okufaananya ennamba (UBJ 861C). Waliwo ababitebya nti kyandiba nga mmotoka eno yatundibwa Roger Lubega abadde akola nga maneja w’omuyimbi Spice Diana. 

Mbu bano baafunamu obutakkaanya era ne bagabana ebyobugagga. Wabula abalala babyogera nti abayimbi bano ba mukwano era ayinza okuba yamuwaddemu avugemu ko. Kyonna kye kiri, Irene Namatovu yeekubisa ebifaananyi ku mmotoka, efaananya nnamba puleeti n'eya Spice Diana

Tags:
Kasalabecca
Irene Namatovu
Spice Diana