Dr. Bbosa owa Ebonies asekeredde ababadde bamubika ku mikutu emigattabantu!

Sam Bagenda, abangi gwe bamanyi nga Dr Bbosa, asekeredde bulijjo abamubika era n’abayita mu muzannyo gwabwe omupya, ‘Gregarious’ bamwote buliro.

Dr. Bbosa owa Ebonies asekeredde ababadde bamubika ku mikutu emigattabantu!
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Ebonies #Dr. Bbosa #Sam Bagenda #Social Media

Sam Bagenda, abangi gwe bamanyi nga Dr Bbosa, asekeredde bulijjo abamubika era n’abayita mu muzannyo gwabwe omupya, ‘Gregarious’ bamwote buliro.

Dr Bbosa, yasangiddwa ng’anywamu ka caayi mu maka ga ba Ebonies ku Labonita gye yabadde n’ebyana nga beegezaamu.

Yagambye nti olw’okuba abadde mukosefumu nga tajja ku siteegi, ab’emikutu gya ‘social media’ kwe baava okumubika.

Yabasekeredde n’abakakasa nti ku Lwakutaano, agenda kubalagako mu muzannyo ogubuulirira abavubuka okukwata obulamu bwabwe nga ekyatika.