Omuzannyi w’e Binigeria omukuukutivu era eyacaaka ennyo mu myaka gy'e 2000, Ramsey Nouah yeesaze ekkanzu n’acamula abantu ababadde bagenze okwetaba ku mukolo gw’okugaba engule z’abasinze mu kuzannya ffirimu mu Uganda.
Ramsey Nouah Ng'ali N'ekirabo Ekyamuweereddwa.
Ku wikendi eno, waabaddeyo okugaba engule za bannakatemba n’abeetaba mu ffirimu ezimanyiddwa nga “Ikon Awards” era omukolo gubadde ku wooteri ya Serena mu Kampala nga bangi ku bazannyi ab’amannya bavuddeyo nga basanyufu olw’okuwangula engule nga basiimibwa olw’ebyo bye bakoze.
Loukman Ali n'emu Ku ngule ze yawangudde.
Newankubadde nga bangi basanyuse olw’okuwangula, abalala key’okulaba ku muzannyi wa firimu ez’e Binigeria, Ramsey Nouah kyabakolede akawungeezi ate bwe yajjidde mu kkanzu ng’ataddeko ekkooti wamma gwe n’ayogeza bangi obwama nga bakinoogaanya mbu yanyumye n’ayitawo!
Irene Ntale omu ku yasanyusizza abantu ng'ayimba
Oyinza okugamba nti Loukman Ali eyakuzanyira mu The girl in the yellow Jumper nti ye yanywedde mu banne akendo oluvannyuma lw’okuwangula engule ssatu.
John W. Katende Owa Ebonies Ng'ayogerako Eri Abantu Oluvannyumwa Lw'okuweebwa Engule Ya Life Time Achievement Award.
John Katende owa Ebonies naye yasiimiddwa olw’ebyo by’akoze mu kisaawe kya ffirimu era n’aweebwa engule ya “Lifetime achievement” kyokka nga “Ikon fellow” w’omwaka yabadde Doreen Mirembe eyazannya mu Mama Wange ng’ono yawangudde n’emitwalo gya ddoola 20,000 mu za wano obukadde 75.
Doreen Mirembe Eyawangudde Ekya Ikon Fellow Of The Year Mu Firimu Ya Mama Wange.
Irene Ntale, Rickman ne ba Benti boys be baasanyusizza abantu abaabadde ku mukolo.
Banno wammanga be baawangudde engule ez’enjawulo.
Mariam Ndagire N'engule Gye yawangudde.
Kafa Coh (Doreen Mirembe)
Gilbert Lukalia &Doreen Mirembe (Kafa Coh)
Micheal Wawuyo Junior (The girl in the yellow Jumper)
Nisha Kalema (Bedroom Chains)
Cosmos Sserubogo (Tembele)
Rehema Nanfuka (Kafa Coh)
Naizi Nasser (The Girl in the yellow Jumper)
My Husband’s Wife, eyawandiikibwa Mariam Ndagire
Quad A (The girl in the yellow Jumper)
Loukman Ali (The girl in the yellow Jumper)
Irene Sseremba (Bedroom chains)
Shakira Kibirige (Kafa Coh)
Rhonnie Nkalubo & Robinah Nansubuga (Kafa Coh)
Loukman Ali (The girl in the yellow Jumper)
Sixteen Rounds (Loukman Ali)
Pius (Brian Mukisa)
Now Way Out (Ashraf Mulima)
Pius (Brian Mukisa)
Allan Kutos Katongole (Ssanyu)
Sally Elizabeth Bwamimpeke (Prestige)
Prestige (Nathan Magoola)
Tuyi Mariserena
Doreen Mirembe (Mama Wange)
John Winston Katende.