Uganda eyolekedde eggwanga lya Saudi Arabia gy'egenda okwetaba mu mizannyo gya Islamic solidarity egigendaokutojjera mu kibuga ekikulu Riyadh okuva nga ennaku zomwezi 7 okutuusa nga 21 omwezi gwa November.
Ekibinja kyabantu 60 kyekisimbuddwa nga kirimu abazanyi 39 nabakungu 21 okuli abasawo, abatendesi nabakungu okuva mu bibiina byemizannyo ebyenjawulo.
Ekibinja Kya Uganda kigenda kukulemberwa Saddick Nassiwu akulira ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa volleyball mu ggwanga.

Abazannyi na'abakungu ba Team
Uganda egenda kwetaba mu mizannyo musanvu okuli Table Tennis, Okuwuga, emisinde ebikonde, okusitula obuzito nekigwo ekizungu.
Emisinde gyegisingako abazanyi abantu nga bali 17 era nga ne kapiteeni wa tiimu egenda Godfrey Changweno muddusi.
Shadir Musa omu ku bakubi bebikonde asuubizza bannayuganda okudda nemidaali egiwerako nga bazimbira ku buwanguzi Bernardo mu ggwanga Lya Kenya gyebaawangude emidaali 15 omwezi guno.
Akulembedemu ekibinja kya Uganda Saddick Nassiwu alabudde abazanyi okukuuma empisa nokwewala emize gyokukwatirira abakazi mu ggwanga Lya Saudi Arabia.
Nassiwu era abalabudde okwewala okwetikka omwenge nebiragalalagala ebiyinza okubakwasa abobuyinza mu ggwanga eryo.
Ye ssaabawandiisi wakakiiko kemizannyo mu ggwanga aka Uganda Olympic committee Beatrice Ayikoru ajjukizza abazanyi okukola namaanyi nekigendererwa ekyokufuna obubonero obubatwala mu mizannyo gya Olympics mu ggwanga lya America mu 2028.

Abamu ku bakungu abatambudde ne Team
Akiikiridde ssaabawandiisi wakakiiko akakulira emizannyo mu ggwanga Dr Bernard Ogwel, Milton Chebet ajjukiza abazanyi ku nsako Eva mu gavumenti buli bannabyamizannyo webawangula emidaali ku mutendera gwensi yonna.
Amawanga 57 gegagenda okwetaba mu mpaka zomwaka guno ezomulundi ogwomukaaga nga Saudi Arabia egenda kuzitegeka omulundi ogwokubiri mu byafaayo.
Uganda ezze yeetaba mu mizannyo gyonna egisembyeyo nga omugatte yaakawangulayo emidaali 11 okuli egya zaabu ebiri, egya Feza mukaaga negyekikomo esatu.