Bano bombi baalabidwako ku mukolo gwa Sheikh Guggwa ogwokwebaza Katonda okumuwa obw'obumyuka bwa Ambaasada mu makaage e Nakwero-Kira Municipality.
Bano babadde bayakaayakanye mu ngoye ekika ky'ekitenji ezaabadde zifaanagana ekintu ekyaleetedde abaabadde ku mukolo okusasamala nga babeekenneenya.
Kyoka bano basabye Sheihk Guggwa nga bw'agudde mu bintu asooke kukola ku nsonga z'abawala abatulugunyizibwa Abawarabu mu Saudi Arabia.