JOSE Chameleone atabukidde omutegesi w’ebivvulu Nobert Twizire amanyiddwa nga Nobat Events, n’amusaba amuggye mu mboozi ze.
Kino kiddiridde Nobat, okuyita ku mitimbagano gya yintanenti, n’ategeeza nti Chamilli yalimba Pulezidenti Museveni nga bw’alina abavubuka ba Ghetto mbu ng’ate tabalina. Nti ate era, Chamilli alina ky’amanyi ku muvubuka eyafiira ewuwe.
Chamilli agamba nti yeewuunya Nobat gye yava okumussaako obukyayi n’atuuka okumwogerako ebikyamu.
Yamulabudde nti bw’ataakikomye, waakweyongerayo mu mateeka, bamukoleko. Wabula ne Nobat akikkaatiriza nti tajja kumutiisatisa kuba by’ayogera, abirinako bwino.