Chamili agenze Kenya kwekebejjebwa

DOKITA Jose Chameleone tawummudde. Yaakava mu Amerika okulongoosebwa akataago ng’eno yagendayo omwaka guwedde. Ku Lwomukaaga, yabaddeyo n’emmisa ey’okwebaza Katonda okumussuusa obulwadde e Lweza.

Chamili agenze Kenya kwekebejjebwa
NewVision Reporter
@NewVision
#Muyimbi #Kenya #Kasalabecca #Chamilli #Musa Ssemwanga

DOKITA Jose Chameleone tawummudde. Yaakava mu Amerika okulongoosebwa akataago ng’eno yagendayo omwaka guwedde.

Ku Lwomukaaga, yabaddeyo n’emmisa ey’okwebaza Katonda okumussuusa obulwadde e Lweza.

Ekyo bwe yakimaze, n’alinnyirawo ennyonyi eyamutuusizza e Kenya okusanyusa abaayo era bamwanirizza na mizira.

Abamuli ku lusegere bagamba nti, e Kenya tagenda kulwayo era ng’oggyeeko okuyimba, waakugendako mu ddwaaliro bamwekebejje.

N’eddagala eryamuweebwa abasawo b’omu Amerika okulimira, wano teririiwo era mu Amerika baamugamba okugenda e Kenya, gy’aba alifuna nga bwe bamukeberangako okutuusa lw’aliddayo mu Amerika baddemu nabo bamwekebejje.

Nga yaakatonnya okuva mu Amerika, Chamilli yasuubiza abawagizi be obutaddamu kunywa mwenge n’okufuweeta sigala nti, obulamu bwe kati abutwala nga zaabu era bwa muwendo.

Login to begin your journey to our premium content