Bruno Betty owa pulogulaamu Akayisanyo ebeera ku Bukedde TV1 okuva Mmande okutuuka Olwokutaano ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo, ategese ekipya ky’atuumye Bruno Betty Experience Katemba mu Binyaanyanyaanya.
Mummy Cars Owa Kalungi Motors E Mmengo Ng'akwasa Bruno Ssente Za Table Gyeyasasudde
Ekivvulu kino kyakubaawo ku Lwokutaano nga July 28, 2023 mu Kisaawe e Kajjansi. Mu mbeera eno abantu n’amakampuni mikwano gye bamuwadde akaseko ku matama bwe bavuddeyo okumuwagira ne nsimbi n’ebintu ebikalu.
Abamuwagidde kuliko owa Tebakyayika Paints e Mengo - Kisenyi aguze emmeeza bbiri za 1,000,000/-, Resty Kalungi owa Kalungi Motors e Mengo eyaguze emmeeza bbiri za 1,000,000, Tom Yiga owa TM pork Joint e Lugala yaguze emeezza ya 500,000/-, Lady Maureen yamuwadde ggomasi ez’okuwa abakyala abagenda okujja mu kivvulu nga bamanyi ebikwata ku Lady Maureen era n’agulira n’abantu abanajja tiketi.
Lady Maureen Ng'akwasa Buluno Gomasi Gye Yamuwadde Okugabira Abakyala Abegenda Okujja Mu Kivvulu Kye
Bruno agenda kuwerekerwako mikwano gye okuli Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny ab’ebinyaanyanyaanya, Mesach Ssemakula, Stabua Natoolo, Paasita Wilson Bugembe, Spice Diana, Bakayimbira, Maurana ne Reign era nga naye kennyini waakusanyusa abantu.
Ku Kkono Ye Tom Owa Tm Pork Joint E Lugala Ng'akwasa Bruno Ssente Z'emMeeza Gye yaguze.
Asabye abantu okujja bamuwagire ng’abanyumiza gyenvudde we. Ono waakusookawo n;’omupiira ogw’ebigere wakati wa babbooda Kawuku ne bodaboda Kajjansi n’ogw’okubaka wakati wa bakyala ba katale k’e Kawuku n’ak’e Kanjansi ng’okuyingira kugenda kubeera ku 10,000/-, 20,000/- ne mmeeza eya emitwalo 50.
Tonnye Tebakyayika ng'akwasa Bruno Ssente.