POLIISI e Dubai ekutte omuyimbi Bennie Gunter bw’abadde agezaako okudda mu Uganda.
Ono baamukwatidde ku kisaawe ky’ennyonyi e Dubai ng’ali ne mukyala we nga kigambibwa nti yakwatiddwa ku by’akavuyo ke yalimu ne bapulomoota abamu e Dubai.
Bennie yapangisibwa okuyimbwa e Dubai wabula ebintu tebyatambula bulungi ekyavaako okusika omuguwa. Abayimbi ba wano olutegedde ku kwatibwa kwa munnaabwe ne baddukira ku mikutu gyabwe egya yintaneeti okuteekayo obubaka obumusaasira.