Olungereza lwa Shakib mu kazannyo ka 'Netflix' lucamudde abalabi

ABOOLUGAMBO bazze babyogera nti Shakib Lutaaya ng’ono ye muninkini wa mwanamuwala Zari Hassan, teyalaba ‘mbaawo ziwera’ mbu era n’Olungereza lwe, lwa bitege. 

Olungereza lwa Shakib mu kazannyo ka 'Netflix' lucamudde abalabi
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Bassereebu #Lungereza #Shakib

ABOOLUGAMBO bazze babyogera nti Shakib Lutaaya ng’ono ye muninkini wa mwanamuwala Zari Hassan, teyalaba ‘mbaawo ziwera’ mbu era n’Olungereza lwe, lwa bitege. 

Abamuwagira, baamulindiridde okuswaza abamwogerako bwe batyo, mu kazannyo aka Young, Famous and African, akazzeemu okulagibwa ku mukutu ogwa Netflix mu Lungereza. 

Ng’akazannyo katandika, mu kweyanjula, Shakib yagasse Oluganda n’Ekingereza. Mu kazannyo ke kamu, Shakib yayatulidde Diamond Platnumz eyali muninkini wa Zari, nga bw’atasanyukira ye (Diamond) kyakubeera nnyo ne Zari, gye yava ng’azaddeyo abaana babiri.