Munnakatemba Hellen Lukoma alaze nga bw'ali omwetegefu okuyamba ku bayimbi; Kataleya ne Kandle okukendeeza ku 'mitawaana' gye bayitamu.
Lukoma okwogera bino kiddiridde olugambo okuyiting'ana nti ebintu si birungi mu nkambi ya Kataleya ne Kandle oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne maneja waabwe, gattako n'ebigambibwa nti tebabadde na ddembe kwetaaya, nga babeera mu nnyumba ebiseera ebisinga.
Lukoma kati agamba nti alina amagezi ne pulaani gye beetaaga okuvvuunuka kye bayitamu, era buli kimu ajja kukikola ku lw’obulungi bwabwe.
"Ndi mwetegefu okubayamba mu kintu kyonna kye baagala. Nsobola okubawabula kubanga byonna bye bayitamu nnaiyitamuuko , kuba mbadde mu mulimu guno okumala ebbanga ddene," Lukoma bwe yagambye.