Muhangi addizza Bebecool omuliro ; "Obutayimba mu kivvulu kyange alinga ayonoona bizinensi yange gye nzimbidde emyaka,”

Olutalo wakati w’omuyimbi Bebe Cool ne Alex Muhangi owa Comedy Store lukyalanda.

Muhangi addizza Bebecool omuliro ; "Obutayimba mu kivvulu kyange alinga ayonoona bizinensi yange gye nzimbidde emyaka,”
NewVision Reporter
@NewVision
#Bassereebu #Kivvulu #Bebecool #Muhangi alex

Olutalo wakati w’omuyimbi Bebe Cool ne Alex Muhangi owa Comedy Store lukyalanda.

Wiiki ewedde, Bebe Cool yagaana okuyimba ku kivvulu kya Alex Muhangi nti yali tasasuddwa ssente ze era yakoma mu paakingi n’akyusa mmotoka ye n’adda eka.

Wabula Muhangi n’agamba nti kino tekyali kya bwasseruganda. “Bukya tutandika kukolagana na Bebe, naakamuyiwamu obukadde obusoba mu 700, era mwewuunyizza obutayimba mu kivvulu kyange nga n’e Kiwaatule gy’abeera, nneyiba wange era ffamire ye n’eyange tulinga abaafuuka abooluganda kati obutayimba alinga ayonoona bizinensi yange gye nzimbidde emyaka,” Muhangi bwe yagambye ng’asinziira ku mukutu gwa ‘Tik-tok’

Login to begin your journey to our premium content