BIG Size Bebe Cool, olutambi lwe olupya lumuwuuba. Luno yaluyise Breaking The Chains, lw’agenda okufulumya mu butongole omwezi guno nga guggwaako era agamba lumumazeeko akawumbi k’ensimbi kalamba okulukolako.
Ku Ssande, yayise abawagizi be (Team Gagamel) e Kiwatule okutema empenda butya ennyimba ku lutambi luno bwe zigenda okukwatayo.
Ennyimba entono ze yaakafulumyako okuli; Circumference ne Motivation tezinnasensera bawagizi be nga y’emu ku nsonga eyamuyisizza abawagizi be, basale amagezi ku kiddako.
Mu lukungaana lwe lumu, Bebe Cool yabasabye okumuyiirawo omubiri naddala mu biseera bino ng’okulonda kwa bonna mu Uganda kusembedde. Oba wano yabadde ategeeza ki?