Abayimbi Bebe Cool ne Bobi Wine bamaze emyaka egisoba mu kkumi nga tebalina nkolagana nnungi era bakontamye emirundi mingi mu lwatu.
Bebe Cool agamba nti Bobi Wine wa NUP si muyimbi wabula muyimbi wa karaoke atagwanidde kuweebwa kifo mu kivvulu kye ekya "Tondeka e Kiwatule" ekigenda okuyimba.