Kasalabecca

Balumbye office za Sacco ne babba emmundu e Bushenyi

okuba n'amajambiya n'emiggo, balumbye ofiisi za SACCO e Bushenyi ne batemaatema omukuumi ne bamubbako n'emmundu.

Balumbye office za Sacco ne babba emmundu e Bushenyi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

okuba n'amajambiya n'emiggo, balumbye ofiisi za SACCO e Bushenyi ne batemaatema omukuumi ne bamubbako n'emmundu.

Byabaddewo ku ssaawa nga 9 mu kiro ekyakeesezza Ssande. Baalumbye Kashenyi SACCO eKashenyi 11 Cell mu Ishaka division e Bushenyi, ne batema omukuumi  wa Global Link Security Services, Aron Karamuzi, 28. Emmundu ekika kya Pump-action omwabadde amasasi asatu, nayo baagitutte ne  bamuleka ng'ataawa. Omwogezi wa
poliisi e Bushenyi, Apollo Tayebwa yagambye nti, Karamuzi baamututte mu ddwaaliro lya KIU Teaching Hospital gy'afunira obujjanjabi  ng'omuyiggo gw'abazigu bwe gukolebwa

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: