EMMUNDU eyabula okuva ku mukuumi w'ekitongole ky'obwannannyini, bagisanze mu bisusunku by'ebijanjaalo mu nnimiro y'omutuuze e Kassanda, ng'ekwekeddwa. Emmundu
Yali ya mukuumi Anderson Baluku ow'ekitongole kya Neptune Guards Ltd eyali akuuma Shrida Investment Ltd mu Kiweesa Cell South ward mu divizoni y'e Ttamu e Mityana. Oluvannyuma lw'okubula kw'emmundu eno, omuserikale ono baamuggalira era abadde ku alimanda.
Omwogezi wa poliiisi mu Wamala, Lameck Kigozi, yagambye nti, ezuuliddwa nnyini nnimiro, Salim Matovu ng'anonye ebisusunku. Yagisanze ezingiddwa mu mpale enzirugavu, n'atemya ku poliiisi.