Abaana ba Ghetto Kids oluvannyuma lw’okweriisa enkuuli mu mpaka za Britain’s Got Talent (BGT) omwaka oguwedde, bazzeemu okulaga kye balinawo.
Wiiki eno beesozze omutendera ogukulembera ogw’akamalirizo mu empaka za America’s Got Talent (AGT). Empaka zino zeetabwamu abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo nga bano balina ebitone ebyenjawulo okugeza mu kuyimba, amazina, katemba, obufuusa n’ebirala.
Ssinga aba Ghetto Kids bawangula empaka zino, bano baakufuna omusimbi oguwera kw'ossa n’okumenya likodi ezibadde zaateekebwawo abaasooka. Zino zaatandise gye buvuddeko era bano baayolesezza amazina agaacamude abalabi kw'ossa abasazi b’empaka zino.