ABA Ghetto kids bakomyewo mu ggwanga okuva e Bungereza gye baalagidde omutindo ogwa waggulu ogwabasobozesa okutuuka ku mutendera ogwa kamalirizo mu mpaka za Britain’s Got Tlent. Bannaabwe Nga Babasanyukirako Olw'obuwanguzi.
Banno baatonnye ku kisaawe Entebbe Lwokubiri ku ssaawa 8:00 ez'omu ttuntu era ng'abantu abaabadde babalindiridde baabalaze omukwano ogwa maanyi nga babakubira enduulu ey’essanyu n’oluleekeleeka okuva ku kisaawe okutuusa e Kampala.
Dauda Kavuma yategeezezza nti basanyufu nnyo n'omutindo gwe baatad dewo bwebaamalidde mu kifo eky'omukaaga era ne yeabaza Bannayuganda olw'obuwagizi n'essaala ze baabasindikidde ng'akakasa nti zaabayambye nnyo okutuuka awo.
Kavuma Dauda,Alabirira Abaana Bano Era Omukuza Waabwe.
Ayongerako nti ekimu ku bintu ebyabasumbuye ennyo kyabadde kya ngatto okuseerera ku mutendera oguddirira ogusembayo (semi - finals) kyokka nti baasobola okuzikyusa era ne baguyitako bulungi.
Agamba nti si baakukoma wanno okukiikirira eggwanga wabula baakugenda ne mu mpaka za America has got Talent ate ezo baakufuba okulaba nga baziwangula kyokka nti essaawa eno abaana balina okusooka okudda mu bitabo bamalirize ttaamu eno.