Bya Joanita Nakatte
Omuyindi Shekhar Singh Shekhawart akulira bakitunzi mu kkampuni ya Steema Transformer and Electrical PVT LTD (U) e Namanve, omulamuzi alagidde azzibweeyo ku limanda e Kauga ku bigambibwa nti yatuusa ogw’obuliisamaanyi ku muwala (amannya gasirikiddwa) eyali agenze okusaba omulimu.
Omulamuzi Moreen Mukoya ow’eddaala erisooka ku kkooti ento ey’e Mukono yalagidde omukwate okuzzibwa mu kkooti okutuusa nga March 16, 2023 okutandika okuwulira omusango guno nga poliisi ekoledde ddala okunoonyereza okwenkomeredde mu nsonga eno..

Omuwala Ng'alaga Omuyindi Bwe Yamutuga.
Omuwala ono ow’oku kyalo Kiwanga - Lwanda mu ggombolola y’e Goma mu disitulikiti y’e Mukono eyabadde ayaziirana, yategeezezza Bukedde nga bwe yagenda ew’Omuyindi ono ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde, bwe yamukubira essimu n’amusuubiza okumufunira omulimu.
Agamba nti yatuuka ew’Omuyindi ku ssaawa 2:00 ez’oku makya n’amulinza okutuuka ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo.
"Yanteeka mu mmotoka n’antwala ku kkampuni gye bakolera n’anambuza ekifo kyonna. Bwe yamala n’antwala mu kifo ekiri emmanju n’anyingiza mu nnyumba gye yasoberezaako.
Kuno yagattako okumukwata emimwa n’okumutuga ng’agezaako okuleekaana. Bwe yamala okunsobyako n’anfulumya wabweru,'' omuwawaabirwa bw'agamba.
Yategeezezza nga bwe yaddukkira ku poliisi e Seeta n’atwalibwa mu ddwaaliro era okunoonyereza ne kutandikirawo n’Omuyindi n’akwatibwa.
Puliida w’omuwawaabirwa Alex Kamukama yategeezezza nga poliisi bw’ekyakola okunoonyereza okuzuulira ddala ekituufu.