Ambasadda wa Uganda mu South Africa, Paul Amoru akubirizza Bannayuganda abawangaalira mu nsi eno okwewala enjawukana, bakolere wamu okusobola okukulaakulana.
Ono yeewuunyizza abo be yayise bannakyegwanyizi abakola obutaweera okwawulayawula mu bantu nga bayita mu by’obufuzi n’ebirala mu kifo ky’okukulembeza obwegassi n’enkulaakulana, n’abategezza nti ne bwe buliba ddi bajja kukiraba nti kye bakola kikyamyu nnyo.
Abamu Ku Bantu Abeeyiye Ku Mukolo Gw'okusiima Pulezidenti Moses Badiru Kibombo E South Africa.
Bongani Fassie Mutabani W’omugenzi Brenda Fassie Ku Ddyo Nga Bamufuuwa Ssente
Bino Amoru yabyogeredde ku mukolo ogw’okusiima Moses Badiru Kibombo, pulezidenti wa Bannayuganda e South Africa era ssentebe w’abo abawangaalira mu kibuga Pretoria olw’ebirungi by’abakoledde.
Omukolo guno ogwasombodde abantu okuva mu masaza ga South Africa ag’enjawulo gwabadde ku Distong Cultural Museum mu kibuga Pretoria era buli obwedda akwata akazindaalo nga atendereza Kibombo okwagaliza n’okuyamba bannansi banne.
Matthew Bagonza Okuva Mu Kakiiko Akawabula Pulezidenti Yoweri Museveni Ku Busuubuzi Aka Presidential Advisory Committee On Exports And Industrial Development (paceid)
Ambaasada Wa Uganda Mu South Africa, Paul Amoru (wakati) Ne Lieutenant General Tommy Mthombeni (ku Kkono) Atwala Police Mu Saaza Lya Gauteng Nga Bogerezeganya. Ku Ddyo Ye Ali Nyanzi Ddumba
Amoru yeebazizza Kimbombo okukulembera banne obulungi, okubayamba wamu n’okubatuusa ku buyambi bwe beetaga wakati mu kusomoozebwa kwe bayitamu wamu n’okulembezza enkola y’obwegassi.
Ono era yakubirizza Bannayuganda okufaayo okumanya n’okwettaniranga enteekateeka eziri ku ofiisi z’ekitebe kya Uganda mu South Africa baziganyulwemu nga; okwewandiisa n’okufuna paasipooti n’endagamuntu ebigenda mu maaso era n’akikkaatirizza nti ku kitebe baweereza Bannayuganda bonna awatali kutunulira nzikiriza oba ebibiina by’obufunzi bye bawagira.
Ye Matthew Bagonza okuva mu kakiiko akawabula Pulezidenti Yoweri Museveni ku busuubuzi aka Presidential Advisory Committee on Exports and Industrial Development (PACEID), yalaze essanyu olwa Bannayuganda abafubye okukola, okutandikawo bizinensi abamu kati bali ku ku ddaala lya bayinvesita.
Bano Nga Bekubya Selfie Ku Mukolo Gwa Kibombo
Pulezidenti Moses Badiru Kibombo Ne Mukyala
Bano yabategeezezza nga gavumenti bw’erina enteekateeka okubayamba naddala okufunira eby’amaguzi byabwe akatale n’okwongera amaanyi mu bizinensi zaabwe.
Bbo ab’eby’okwerinda nga bakulembeddwaamu Lieutenant General Tommy Mthombeni atwala poliisi mu ssaza lya Gauteng, yalabudde abo abeenyigira mu bikolwa ebikyamu okukikomya nti lwe bajja okweyagalira mu ggwanga lino awatali kubakuba ku mukono.
Ye Kibombo eyabadde abugaanye essanyu, yeebazizza abateesiteesi wamu n’abo abaawagidde enteekateeka y’okumusiima era n'asuubiza okwongera okulwanirira n’okuyamba Bannayuganda bonna okulaba nga baganyulwa mu bye bakola.
Pulezidenti Moses Badiru Kibombo Ne Mukyala We Nga Basala Keeki
Bamemba B’olukiiko Olwategese Omukolo Gw’okumusiima Pulezidenti Moses Badiru Kibombo Nga Bekebya Ekifaananyi Eky’awamu.
Aba Ddigi Abakulembeddemu Pulezidenti Moses Badiru Kibombo Okutuuka Awabadde Omukolo Gwe E South Africa (1)
Kibombo yabakuutidde okujjumbira olukung’aana lwa Confederation of Ugandans in Southern Africa (COUSA) olutaba Bannayuganda abawangalira mu South Africa n’amawanga agaliranyeewo era n’abategeeza nga bwe bakolaganye n’ebitongole bya gavumenti ya Uganda n’ebirala okubamanyisa n’okubatuusaako empeereza yaabwe okuli bbanka, ab’ettaka, abakola ku nsonga z’ebweru ne munda mu ggwanga, ab’eby’obusuubuzi n’abalala abagenda okubeera mu lukung’aana olw’ennaku essatu (3) olutandika nga August, 1.
Omukolo guno ogwabaddewo ng’ekivvulu, gwetabiddwaako abayimbi Bannayuganda n’ab’e South Africa okwabadde; Brown Shugar, Billy Kasodde, Disan Kasasa, Mukabya Junior, Ntosh Gazi, Bongani Fassie mutabani w’omugenzi Brenda Fassie n’abalala.