EKITONGOLE ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kiragidde amasomero batandike okuweereza ebigezo by’okunoonyereza (Course work) by’abayizi okutandika leero ku Lwokubiri nga August 15, 2023
Ekiwandiiko kya UNEB ekyafulumiziddwa akulira ekitongole, Dan Odongo kyalagidde amasomero okuweereza okunoonyereza okutandikira ku lusoma olw’okubiri n’olusoma olwokusatu ey’abayizi abaali mu S.3 ne S.5 mu 2022.
Kwe balina n’okusindikira ebigezo by’abayizi eby’olusoma olusooka nolwokubiri ey’abayizi abali mu S.4 ne S.6 ey’omwaka guno.
Okuweereza ebigezo by’abayizi bye bazze banoonyereza ku masomero okutandise leero kujja kukomekkerezebwa nga September 30, 2023.
Ebigezo ebinaaweerezebwa ekikeerezi nga nsalessale ayiseeko bajja kusasula engassi ya 50,000 buli muyizi. Kyokka kino nakyo kiriko ekiseera obutasukka October 15, 2023.
UNEB egamba nti singa omuyizi alemwa okuweereza course work mu masomo agaalagirwa abeera tajja kugololwa bigezo bya UNEB eby’akamalirizo.
Singa omuyizi akyusa ekifo waagenda okutuulira ebigezo, alina okusooka okukakasa nga course work awe yaweerezebwa mu ssomero eddala okuva gye yali.
Ebigezo bino bijja kuweerezebwa amasomero nga bayita ku mitimbagano okutuuka ku UNEB portal.
Omwogezi wa UNEB, Jennifer Klaule Musamba yagambye nti abayizi abakola amasomo okuli; Technical drawing, wood work, French, mental work ne Art and Design be kikakatako okuweereza waaka gwe babadde bayigirako mu kiseera ekyogeddwako.
Ebinaaba biweerezeddwa abayizi nga bukyali bikola ebitundu 30 ku 100 ku bubonero bwonna omuyizi bwafuna ku bigezo byakamalirizo ebya UNEB.
Kyokka singa omuyizi alemwa okuweereza waaka ye, babeera tebasobola kumubala bubonero bwafunye ku nkomerero.
Kalule era yasabye abazadde okukakasa ng’amasomero gatimbye amannya g’abayizi be baawandiisa okutuula ebigezo by’akamalirizo. Omuzadde asobola okumanya oba omuyizi yawandiisibwa nga weeyambisa essimu y’omungalo mwowandiika ekigambo REG n’ozzaako index numba mu bujjuvu n’oweereza ku 6600.