Robert kasule Sebunya agudde mu bintu oluvannyuma lwa Pulezidenti okkola  enkyukakyuka mu kakiiko k'ebyokulonda

11th January 2024

 Robert kasule Sebunya agudde mu bintu oluvannyuma lwa Pulezidenti okkola  enkyukakyuka mu kakiiko k'ebyokulonda

Robert Kasule Sebunya alondeddwa okubeera okubeera mmemba ku lukiiko olufuzi olwa electro commission
NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni akoze enkyukakyuka mu bakulira akakiiko k’ebyokulonda mwasuulidde bammemba abakadde basatu n’abasikiza abapya nga mulimu Robert Kasule Ssebunya eyali omubaka we Nansana.

Ebbaluwa Museveni gye yawandiikidde Sipiika wa Palamenti ng’akozesa obuyinza obumuweebwa ennyingo ya 60 (1) eya Konsitityusoni yalonze omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi ku bwa ssentebe ne Hajjati Aisha Lubega ku bumyuka bwa ssentebe. Bano bombi yabongedde ekisanja ekyokubiri.  

Stephen Tasobya yamulonze nga mmemba w’akakiiko ng’ono yekka ye yakomyewo ku babaddeko mu kisanja ekikadde. Abaalondeddwa abapya kuliko; Dr. Sallie Simba Kayunga ng’ono musomesa w’ebyobufuzi ku yunivasite e Makerere, Anthony Okello eyali omubaka we Kioga mu disitulikiti ye Amolatar, Pamela Etonu Okudi abadde akulira ebyenzirukanya y’emirimu mu kakiiko k’ebyokulonda ne Kasule Sebunya.  

Pulezidenti yaweerezza amannya g’abaalondeddwa n’ebibakwatako ewa Sipiika, akakiiko ka Palamenti akakasa ababa balondeddwa kasobole okubasunsula.  

Bakamisona ababadde ku kisanja ekikadde abaasuuliddwa kuliko; Peter Emorut, Musitapha Sebaggala Kigozi, Nathaline Etomaru ne Justine Ahabwe Mugabi. Kyokka Mugabi yabadde aweerezza ebisanja bibiri nga takkirizibwa kuddamu kulondebwa ku kisanja kyakusatu kuba yali ku kakiiko akaali kakulirwa Badru Kiggundu.  

Paul Bukenya owmogezi wa Palamenti yakakasizza ebbaluwa Pulezidenti n’agamba nti talina kyayinza kukyogerako kuba yaweerezeddwa wa Sipiika alina okulambulula ebisingawo.  

Mu tteeka abakulira akakiiko k’ebyokulonda baweebwa ekisanja kya myaka musanvu, kyokka nga basobola okuweebwa ekisanja ekyokubiri singa Pulezidenti abeera asiimye.  

Kati ekirindiriddwa ke kakiiko ka Palamenti akasunsula ababa balondeddwa (Appointments Committee0 akakulirwa Sipiika yennyini okuyitibwa basunsule ssentebe, omumyuka we ne bamemba abataano.  

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.