Amawulire

Museveni waakwogerako eri eggwanga enkya ku byokwerinda

PULEZIDENTI Museveni enkya ku Lwokubiri agenda kwogerako eri eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’obutebenkevu.

Museveni waakwogerako eri eggwanga enkya ku byokwerinda
By: Lawrence Kizito, Journalists @New Vision

Pulezidenti Museveni enkya ku Lwokubiri agenda kwogerako eri eggwanga ku nsonga z’ebyokwerinda n’obutebenkevu.

Mu bubaka bw’afulumizza ku mukutu gwe ogwa X eyali Twitter, Museveni yagambye nti agenda kwogera eri eggwanga ku ssaawa 2:00 ez’ekiro, ku mikutu gy’amawulire gyonna, ng’essira agenda kuliteeka ku butebenkevu n’ebyokwerinda by’eggwanga, okusingira ddala ebigenda maaso mu lutalo lw’okufuuza abayeekera ba ADF e Congo.

President Museveni lwe yayogerako eri eggwanga gye buvuddeko.

President Museveni lwe yayogerako eri eggwanga gye buvuddeko.

Museveni w’ajjidde okwogera, ng’ennyonyi ya UPDF ekika kya Helicopiter eyali egenda e Congo mu lutalo, yaakamala okugwa n’esaanawo, ne mufiiramu abajaasi babiri, n’omutuuze omu ku kyalo Nyamisingiri, mu ggombolola y’e Kichwamba mu disitulikiti y’e Ntoroko.

Mu ngeri y’emu, omuntu atannategeerekeka yasindidde mmotoka y’Omusumba Bugingo amasasi, n’atta omukuumi we, Richard Muhumuza, ate ye Bujjingo n’abuuka n’ebisago, era Poliisi ekyanoonya abaakoze ettemu lino.

Mu bubaka bwe obuggulawo omwaka, Museveni yategeeza eggwanga nti bbomu ze basuula ku nkambi z’abayeekera ba ADF e Congo zibabuzizzaako obwekyusizo, nga kati basazeewo kudda mu Uganda mu bubba bakole obulumbaganyi ku bantu abatalina musango.

Yalagira buli Munnayuganda n’abeebifo ebisulwamu okugeza nga wooteeri ne loogi, okusooka okusaba buli muntu densite y’eggwanga nga tebannatandika kukolagana naye, era beekakase nti densite eyo ye ntuufu okuva mu NIRA.

Museveni agamba nti abayeekera bano basula mu bifo bino ne baluka miisoni zaabwe ez’okutuusa obulabe ku Bannayuganda, nga kati buli omu alina okubeera obulindaala, okulaba nga bababuzaako obwekyusizo babalemese okutta abantu abatalina musango.

UPDF era Museveni agamba nti esobodde okukwata abamu ku bayeekera bano abaali bayingidde eggwanga, okuli Njovu eyali abakulira, ate munne Kamusu bwe baali bakulembera ekibinja ye yattibwa.

 

 

Tags:
Pulezidenti Museveni
Ggwanga
Byakwerinda
ADF
Congo