Ku luno, erinnyisizza ggiya okumugula mu katale akaggulwawo mu August.
Sancho, akasambira Dortmund kyokka sizoni eno atawaanyiziddwa obuvune obumulemesezza okuzannya obulungi nga bwe yali asuubirwa.
Omutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer agamba nti wadde guli gutyo, omuzannyi ono yamwegomba dda. Dortmund emwagalamu obukadde bwa pawundi 100 naye bwandiba obungi eri ManU.
ManU, ebadde erowooza ne ku Erling Haaland nga naye wa Dortmund kyokka ttiimu ezimuliko nnyingi okuli; Man City, Real Madrid, Barcelona nga kyandiviirako Dortmund emutunda, okumuseera.
ManU egamba nti singa efuna Sancho, yandisikira Edinson Cavani gwe baagala okwongeramu endagaano y’omwaka ogumu, n’oluvannyuma bamusiibule kuba ku myaka 34 gy'alina kati, akuliridde.
Mu Premier sizoni eno, ManU eri mu kifo kyakubiri ku bubonero 70 mu mipiira 34. Man City ekulembedde eri ku bubonero 80 mu mipiira 35.