Engeri gy'osobola okusimbamu emmwaanyi n'ozifunamu ekiwera

EMMWAANYI kye kirime ekisinga okuba eky’omugaso  mu by’enfuna by’eggwanga era kuva dda nga Uganda kye kirime ky’esinga okutunda ebweru w’eggwanga.

Kayumba ng'ala emmwaanyi ze.
NewVision Reporter
@NewVision

Bya EMMANUEL SSEKAGGO

EMMWAANYI kye kirime ekisinga okuba eky’omugaso  mu by’enfuna by’eggwanga era kuva dda nga Uganda kye kirime ky’esinga okutunda ebweru w’eggwanga.

Ekirungi ekiri ku mmwaanyi  ekitali ku birime birala nkiri nti emmwaanyi omuntu agisimba mulundi gumu  nga ne bwakaddiwa nga takyalina maanyi gazirimamu buli kiseera asobola okusigala ng’anoga emmwanyi okusobola okweyimirizaawo.

Godfrey Kayumba omulimu w’emmwaanyi okuva e Busunju awadde abalimi amagezi ku ngeri gye balina okulabiriramu emmwaanyi zaabwe basobole okuzifunamu.

ENSIMBA Y’EMMWAANYI EY’OMULEMBE

Okusinziira ku kunoonyereza kwenkoze mu kulima emmwaanyi nakizuula nti amabanga getuwa emmwaanyi zaffe oluusi gayitirira.

Bw’oba oyagala okufuna ekiwera emmwaanyi zisimbe fuuti 5 ku 10 okuva ku kikolo ekimu okutuuka ku kirala. Kino kijja kukuyamba okufuna ekiwera mu nnimiro yo.

Bw’omala okusima ekinnya osobola okuteekamu ebigimusa okuli obusa oba kalimbwe w’enkoko,   olina okubireka   ne biwola  era nga byandimaze  omwezi gumu olwo n’olyoka osimba emmwaanyi. Wabula bw’oteekamu endokwa z’emmwanyi nga kalimbwe takaze ayinza okugyokya.

EMMWAANYI EKIKA KYA ‘CUT’ ZEZISINGA OKUKULA AMANGU

Kayumba agamba: Nze nsimba emmwaanyi ekika kya “cut” nga zino ekirungi kyenazizuulamu okusinga ku kya elite kwe kuba nti zo zikula mangu era nga mu bbanga lya mwaka gumu gwokka ekika kino ziba zitandika okumulisa ekiyamba omulimi okutandika okufuna ssente mu bwangu.

Ekirala ekirungi ekiri ku kika kya “cut” kwe kuba nti emmwaanyi  ekika kino ziteekako empeke ennene  ate nga empeke gy’ekoma okuba ennene n’omuwula gye gukoma okuba omunene olwo nga n’obuzito bweyongera  ekigiwa enkizo ku katale okusinga ekika ky’emmwaanyi ekirala kyonna.

 

Login to begin your journey to our premium content