Bya EMMANUELSSEKAGGO
OKULIMA gwe mulimu ogulina okukolebwa kumpi buli Munnayuganda si songa oba abeera mu kyalo oba mu kibuga kubanga obulimi y’ensulo y’emmere wamu ne ssente. Okulima tekyiva ku bunene bwa ttaka omuntu bw’alina wabula kiva ku bwagaazi omuntu bw'aba nabwo eri obulimi.
Omuntu asobola okuba n’ettaka eddene naye nga talikozesa kimala era nga talifunamu nga bwekyandibadde wabula n’osanga omuntu alina ettaka ettono naye ate ng’alikozesa era ng’alifunamu bya nsusso.
Josephine Jemba omutuuze w’okyalo Mpunga mu tawuni kanso ye Wakiso y’omu ku balimi abakozesa attaka ettono wabula ne balifunamu kinene ng' afuba okulaba nga buli ttaka lyonna ly’alina alisimbako ebimera okusobola okulifunamu ennyo.
Ono mulimi wa nva ndiirwa era ng’alima obutungulu, ennyaanya, sukumawiiki, emboga n’ebirala era ng’abirimira waka ete nga kumpi ali mu kibuga. Ono akozesa enkola eya ‘raised gardens’ okulima eva ze era ng’azirima mu nnima ya butonde.
ENNIMA ENO NNUNGI NNYO NADDALA ERI ABALIMIRA AWAFUNDA
Omuntu alimira naddala awafunda alina okufuba okulaba nga buli kataka k’alina akakozesa. Enkola ya Raised Garden omuntu atuuma ettaka mu nyiriri era n’aliriikiriza bulungi olwo n’asimbako ebimera naddala enva endirwa.
Ekirungi ku nkola eno kiri nti mu kitundu kimu eky’ennimiro asobola okulimiramu ebika by’enva eby’enjawulo nga ku buli kalimiro osimbako kika kirala olwo enkuubo eziba zisigadde wakati wa buli ttaka lyawudwa omuntu mw'ayita ng’alabirira ennimiro ye.
Singa omala okutuuma ettaka lyo, likubekube amafufugu gonna gagweemu. Kino bwe kiggwa olitabulamu ebigimusa naddala kalimbwe w’enkoko kubanaga akola bulungi nnyo ngogenda okulima enva endiirwa.
Mu mbeera eno ettaka liba lifunye obugimu obwenkanankana era oba asoboola okulifukirira nerinyikira bulungi era oluvannyuma osobola okusimba enva zo era ziba zaakukula bulungi.