EDDWAALIRO ekkulu erya Kawolo General Hospital mu disitulikiti y’e Buikwe liri mu katu olw’ebbula ly’ebikozesebwa mu kifo awatuukirwa abalwadde abali mu mbeera embi ( Intensive Care Unit) ICU.
Ekifo kino kyagaziyizibwa okusobola okujjanjjaba abantu ab’enjawulo abali mu mbeera embi kyokka ebyembi ebyuma bitono nnyo ebyateekebwamu nga mu kiseera kino kyetaagisa ebyuma ebirala bingi okusobola okukola ku balwadde.
Haruna Wamala ng’ono y’akulira eby'emirimu mu ddwaaliro lino agamba nti eddwaaliro lyaweebwa' ICU monito'r ssaako n’ebyuma ebirala ebikola kyokka bingi ku birina okukozesebwa bikyabulamu omuli; oxygen cylinder, sikaani ssaako n’ebyuma ebiyamba okussa . Okusinziira ku Wamala ebyuma bye balina mu kiseera kino tebisobola kukola byokka mu kiseera kino.
Ate okusinziira ku alipoota y’omubalirizi wa gavumenti yalaga okusoomooza okw’enjawulo mu ddwaaliro lino mu mpeereza y’emirimu, ssaako n’ebyuma ebitakola bye balina.
Wamala akubidde gavumenti omulanga okulowooza ku kuteekawo ebifo eby’enjawulo eddwaaliro we lisobolera okujjanjjabira abalwadde abali mu mbeera embi nnyo kino kikendeeze ku muwendo gw'abalwadde abasindikibwa mu malwaliro amanene.
Omwogezi wa kitongole ky'ebyobulamu, Emmanuel Ainebyoona ategeezezza nga minisitule bw’eteekateeka okuteeka ebyuma eby’enjawulo mu bifo ebyenjawulo awatuukirwa abalwadde abaayi okwetoolola eggwanga lyonna .