Jose Mourinho agobeddwa ku butendesi bwa Spurs

MOURINHO 58, abadde mu mitambo gya kiraabu eno okuva mu November wa 2019  ng’adda mu bigere bya Mauricio Pochettino.

Jose Mourinho agobeddwa ku butendesi bwa Spurs
NewVision Reporter
@NewVision
#Jose Mourinho #Spurs #Mourihno #Ryan Mason

Endagaano ey’omuportugal ono ebadde yaakuggwaako mu 2023 kyokka bannannyini kiraabu tebamulinze kugimalako ne bamukwata ku nkoona.

We bagobedde Mourihno nga mu Premier, Spurs eri mu kyamusanvu n’obubonero 50 okuva mu  mipiira 32 nga kino kigiteeka mu lusuubo olw’obutazannya mu mpaka za Champions League sizoni ejja.

Mourinho ng'agwa goolokiipa mu kifuba

Mourinho ng'agwa goolokiipa mu kifuba

Okugobwa kwa Mourihno okutongole kuyisiddwa enkya ya leero ku mukutu gwa kiraabu eno omutongole ku ssaawa nga 6:00 ez’e Uganda ne bategeeza nti Jose Mourinho ne banne baabadde akola nabo okuli: Joao Sacramento, Nuno Santos, Carlos Lalin ne Giovanni Cerra bagobeddwa ku mulimu.

 

Okusinziira ku mikutu gy’amawulire egimu ekifo Mourinho mw’abadde kyandizzibwamu Ryan Mason okutuuka sizoni eno eya 2020 – 2021 lw’enaggwa mu June w’omwaka guno. Waliwo n’ebigambibwa nti Julian Nagelsmann atendeka RB Leipzig naye yandirya omulimu guno.

Spurs eri mu kwetegera fayinolo ya Carabao Cup mw’egenda okuttunkira ne Man City ku Ssande. Mourinho ayogerwako ng’abadde alese enjatika mu ttiimu era engeri gye yafeebyamu Dele Alli kimu ku bimuleetedde obuzibu.

 

 

Login to begin your journey to our premium content