Sikyangu kunnyuka butendesi kati - Mourinho

Jose Mourinho eyaakafuumuulwa ku gw'obutendesi bwa Spurs ategeezezza nti tasobola kunnyuka mulimu gwa butendesi olw'okuba agobeddwa.

Sikyangu kunnyuka butendesi kati - Mourinho
NewVision Reporter
@NewVision
#Mourinho #Spurs #ManUnited #Chelsea

Mourinho eyalabise nga tanyoleddwa olw'okugobwa mu Spurs yategeezezza bannamawulire nti eky'okusooka okuwummulamu ogw'obutendesi okumala akaseera takiwulire ear amangu ddala akomawo ng'omutendesi.

Bannmawulire baamulemeddeko abamu ne bamubuuza oba tekyamuyisizza bubi okugobwa mu ngeri eyo wabula n'abaddamu ng'aliko n'akaseko ku matama nti, ' Nze mummanyi bulungi, sijja kumala googera ku nsonga eziringa ezo' obolyawo okufaananako n'omukulu omu wano eyalabikira mu katambi ng'agamba ' Nze ssimala gooooogera!'.

Omuportugal ono yatendekako Chelsea ne ManUnited nazo eza Bungereza era mu Chelsea mwe yasinga okukolera ebyafaayo ne yeepaatikako n'erinnya lya 'The Special One' kuba bw'ogeraageranya emirundi ebiri gye yaliyo ng'omutendesi, yawangula emipiira 135 kw'egyo 193, ekimufuula ow'enjawulo era mu batendesi bonna bukya Premier League etandikibwawo yekka y'alina likodi eno.

 

 

Login to begin your journey to our premium content