Omukutu gw’amawulire ogwa The Athletic gwategeezezza nti abakungu ba Spurs baatuukiridde Marcelino kuba gwe balabamu ekyama okuzza Spurs ku maapu. Ono nzaalwa ya Spain era atendese ku ttiimu z’e Spain ennene okuli; Sevilla, Villarreal, Valencia ne Bilbao.
Sarri
Ono ye yayambye Bilbao okuwangula ekikopo kya Spanish Super Cup bwe baakubye Barcelona ku fayinolo. Endagaano ya Marcelino eggwaako mu 2022 kyokka mulimu obuwaayiro obumukkiriza okugenda singa abeera afunye ttiimu emutwala.Marcelino
Mu batendesi abalala abatunuuliddwa kuliko; Julian Nagelsmann kyokka akalippo Spurs k’erina okuvvuunuka kwe kusasula obukadde bwa pawundi 17, RB Leipzig bw’eyagala okumuta sso nga ne Bayern etunuulidde omutendesi y’omu okugitendeka sizoni ejja.Maurizio Sarri eyaliko omutendesi wa Chelsea naye y’omu ku batunuuliddwa nga bagamba nti ajja kwanguyirwa okubeera mu Bungereza kuba Olungereza alumanyi sso nga n’omutindo gwe mu Chelsea tegwali mubi nnyo.
Nagelsmann
Mourinho yagobeddwa ku makya ga Mmande nga bakama be bamulanga mutindo gwa ttiimu gwa kibogwe. Ku Ssande, Spurs yaakuzannya fayinolo ya Carabao Cup ng’ettunka ne Man City era Ryan Mason omutendesi ow’ekiseera y’agenda okukola nga omutendesi ow’ekiseera.