Chelsea etimpudde Real Madrid ggoolo 2-0 ne yeesogga fayinolo ya Champions League mu semi fayinolo ebadde ey'okudding'ana ku Stamford Bridge amaka ga Chelsea.
Ggoolo za Chelsea ziteebeddwa ne Timo Werner (28) ne Mason Mount (85) ng'ono y'ateebye ggoolo eyakazibwako erya 'ggyayo essuubi' ekutidde aba Real Madrid emitima.
Chelsea eyitiddewo ku mugatte gwa ggoolo 3-1 nga mu gwasooka baalemagana ggoolo 1-1.
Kati nno ekibanyi kyakugwa n'amenvu nga Chelsea ne ManCity zombi ezizannyira mu liigi ya babinywera eya Premier League battunka mu fayonolo y'empaka zino wali ku kisaawe kya Atatürk Olympic Stadium ekisangibwa mu ggwanga lya Turkey ng'ennaku z'omwezi 29/May/2021.
Istanbul Atatürk Olympic Stadium 1
Atatürk Olympic Stadium awagenda okuzannyibwa fayinolo ya Champions League