Man City yabadde yaakusitukira mu kikopo kya sizoni eno ku Lwomukaaga singa baawangudde Chelsea wabula ebintu byabatabuseeko bannyinimu bwe baagivudde emabega ne babawangula ggoolo 2-1.
Kino kyataddewo okutya mu bawagizi ba ttiimu eno nti ekikopo kyandibalema kyokka ate abalala omuli n’abasunzi ne bakuba jjejjerebu era nga balina essuubi nti emipiira egibulayo gyonna gyakubalema okuwangula.
Ku Lwokutaano, Man City yaakukyalira Newcastle ku St. James’ Park n’ekigendererwa ky’okufuna obubonero busatu esobole okulangirirwa ku bwakyampiyoni.
2019 Man City V Crystal Palace (9)
Man City eyigga kikopo kya Premier kyakusatu mu sizoni nnya ezisembyeyo.
“Tugezaako okuwangula buli mupiira kw’egyo egisigaddeyo basobole okuwangula ekikopo. Singa tulemwa okuwangula Newcastle, tujja kulwana tulabe nga tukuba Brighton olwo tuwangule ekikopo,” Guardiola bwe yagambye.
Yagasseeko nti, “Buli mupiira tugenda kuguzannya nga gwe gutuwa ekikopo kuba twetaaga obubonero busatu. Wabula yasambazze ebigambibwa nti ye, abazannyi be n’abamyuka be bali ku puleesa.”
Man City esobola okuwangula ekikopo nga tennazannya Newcastle singa ManU ekubwa Leicester City gye battunka nayo enkya.