Kino kijjidde mu kaseera nga Arsenal erinze okudding’ana ne Villarreal mu gw’oluzannya lwa semi ya Europa enkya.
Tierney ne Lacazette batendekeddwa bulungi ne bannaabwe ku Lwokusatu ekyawadde Arteta essuubi nti baakumuyamba mu nsiike y’enkya.
Arsenal yeetaaga kuwangula omupiira guno ggoolo 1-0 kuba mu gwasooka e Spain, Villarreal yawangula ggoolo 2-1.
Tieney (1)
Tieney eyassuuse obuvune
Tierney amaze omwezi mulamba ku ndiri oluvannyuma lw’okufuna obuvune.
Arteta alwana kutuusa ttiimu ye ku fayinolo ya Europa ate ewangule n’ekikopo kino kuba guno gwe mukisa gwokka gw’erina okuddayo mu Champions League gy’emaze sizoni nnya nga tetuuka.
Omutendesi wa Villarreal, Unai Emery era nga yaliko omutendesi wa Arsenal, ayagala kuggyamu abaali bakama be ate awangule ekikopo kino omulundi ogwokuna.