Arsenal eraze ssente z’eyagala mu bazannyi baayo babiri

ARSENAL yanditunda abazannyi baayo babiri kigisobozese okufuna ssente ezigula abazannyi b’omuzinzi abaggya.

Arsenal eraze ssente z’eyagala mu bazannyi baayo babiri
NewVision Reporter
@NewVision
#Arsenal #Eddie Nketiah #Ainsley Maitland Nile #West Brom #Sam Allardyce

Abazannyi bano ye Eddie Nketiah me Ainsley Maitland Nile nga bano basuubirwa okutundibwa mu katale k’abazannyi nga kagguddewo. Niles ow’emyaka 23, mu kiseera kino ali ku bbanja mu West Brom era omutendesi Sam Allardyce amuzannyisa mu makkati omuzannyi ono w’asinga okumatira.

Abazannyi Arsenal b'eyagala okutunda

Abazannyi Arsenal b'eyagala okutunda

Mu ngeri y’emu, Nketiah ali mu Arsenal kyokka yaakazannyayo emipiira ena gyokka sizoni eno. Wadde nga Arsenal yalina essuubi ddene mu bazannyi bombi, balemeddwa okulinnyisa omutindo okufuna ennamba mu ttiimu esookamu.

Kigambibwa nti Arsenal eyagala obukadde 20 mu Nketiah era Leicester yalaze dda ng abwe yeetaaga omuzannyi ono.Mu ngeri y’emu, Arsenal era yataddewo obukadde bwa pawundi 20 ku Nile nga ono Southampton yeesowoddeyo dda okumukansa.

Omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta yasuubizza okuyingira akatale aguleyo abazannyi ab’omuzinzi basobole okuvuganya ku bikopo byonna sizoni ejja.

Mu kiseera kino, bali mu kya 10 mu Premier ku bubonero 46 sso nga ku Lwokuna, bagenda kukyalira Villarreal eya Spain mu gw’oluzannya olusooka ku semi ya Europa League.

Kino kye kikopo Arsenal ky’esigaddemu era bwe kinaagirema okutwala, sizoni ejja tejja kukiika mu mpaka zonna mu Bulaay.

Login to begin your journey to our premium content