Bino byogeddwa Bishop Elijah Ssebuchu Omusumba w'Abalokole ow'Ekkanisa ya Kampala International Christian Center (KICC) e Kyanja bw'abadde asibirira abakkiriza obubaka obw'enjawulo mu kisiibi kino.
Ssebuchu ng'ayogera.
Bp. Ssebuchu yagambye nti ssinga omukkiriza yeenenya ebibi bye mu kisiibo wabula n'addamu n'akola emize emibi ng'ekisiibo kiwedde aba alinga ayozezza engoye ate n'azaanika mu ttaka.
Ono asabye abakkiriza nti beeyambise ekisiibo kino okuleeta enkyukakyuka eya namaddala mu bulamu bwabwe bwe batyo batambulire mu mpisa ennungi ebbanga lyonna.
Ono era akuutidde abakkiriza okufuba okulaba nga bafuba nnyo okutereeza enkolagana yaabwe ne bantu bannaabwe kubanga ne bwe banaasaba Katonda ekisonyiwo olw'ebibi ng'ate bakola ebinyigiriza abalala ekyo Katonda takisanyukira era akola kino ekisiibo kyandimusala.