Bya VIVIEN NAKITENDE
Abantu bangi basitukiddemu okwenyigira mu kulwanyisa mukenenya asobole okukendeera n’okuggweerawo ddala.
Bangi beenyigidde mu kubunyisa amawulire agakwata ku siriimu, okutaasa abatamulina n’okuyamba abamulina okubeerawo obulungi nga balamu, nga tebasiiga balala.
Bukedde Logo
Simon Peter Bukenya 31 ow’ekitongole kya Live Alive Network (LIAN) ekyatandikibwawo mu 2017 y’omu ku bali mu kaweefube ono.
Bukenya agamba nti okutandika ekitongole kino, yalina ekigendererwa ky’okuyamba abantu mu bitundu, naddala okutaasa abavubuka obutafuna kawuka ka mukenenya, ate n’ababulina obutabusaasaanya eri abalala nabo beenyini okubeerawo nga bali bulungi.
Agamba nti; Nze nnina akawuka ka siriimu era nazaalibwa nako. Nkuze ndaba abantu
bangi abalina akawuka ka siriimu nga bali mu kutya nga tebamanyi kyakukola,
beeraliikirira okufa ekiseera kyonna, so nga basobola okuwangaala nako.
Nasalawo nneeweeyo mbeere omu ku balwanyisa obulwadde buno, ngabane ku bumanyi bwe nali nfunye ku kawuka kano obunnyambye okuwangaala nako
emyaka egisukka 30 ne bannange abalala ababulina nabo basobole okuwangaala
nga tebasiiga balala, n’abatabulina bamanye engeri y’okubwewalamu.
Mu Kaweefube W’okulwanyisa Mukenenya, Bagaba Ne Kkondomu.
Natandikawo ekitongole kino ekya LIAN mu 2017 nga kirina ekitebe kyakyo e Lungujja okumpi n’ekkanisa ya Mackay Nateete.
Nneegatta ku bibiina eby’enjawulo okuli; Uganda Cares, Aids Healthcare Foundation (AHF), Love to Love, Sail-Ug, Uganda Aids Commission, KCCA n’ebirala, bye
nkola nabyo emirimu okuyamba abalina akawuka n’abatalina.
Tugabira abantu obupiira bukalimpitawa mu bitundu byabwe okwetooloola eggwanga, ku masomero, nnina abakozi abasukka mu 50 be nkola nabo emirimu. Tuwa n’abantu emisomo ku bulwadde bwa siriimu ne bamanya ekyokukola n’ebirala.
Abawala abazaala nga bato ne bafuna akawuka ka siriimu tubatendeka emirimu gy’emikono omuli; okutunga, okukola ebitabo, okukola paadi, okukola ssabbuuni w’amazzi, okukola obuwempe n’ebirala bye baggyamu ssente okusobola okwebeezaawo, tuvumbula ebitone by’abaana abalina akawuka ne balema okwekubagiza nga tuyita mu by’emizannyo.
Nnina essuubi nti, ssinga abantu bonna bafuna amawulire agakwata ku kawuka
ka siriimu, basobola okukyusa enneeyisa yaabwe; abakalina ne balema okusiiga
abalala era ne bamira bulungi eddagala lyabwe ne basobola okuwangaala, ate
abatalina ne beewala okukwatibwa, awo siriimu tujja kuba tumulinnye ku nfeete.
Abalina akawuka kano basaana okukimanya nti, si y’enkomerero, nti era basobola okutuukiriza ebirooto byabwe nga nze kubanga nava ku kwekubagiza ne nsalawo ngobe ebirooto byange era bingi mbituuseeko.
Bangi babulamu okubabudaabuda n’okubabuulira ekituufu eky’okukola, ekyo kye kintambuza Uganda yonna nga mbabuulira amawulire agakwata ku kawuka kano.