Amawulire

Ssekukkulu ; Aba West Buganda bakung'aanidde e Masaka okukooloobya ennyimba za mazaalibwa

Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ofiisi y'Obulabirizi ekuliddwa omuwandiisi, Can. Moses Kayimba ne Provost wa lutikko, Can. Eliab Nkambo Mugerwa n'abalala.

Ssekukkulu ; Aba West Buganda bakung'aanidde e Masaka okukooloobya ennyimba za mazaalibwa
By: Ssennabulya Baagalayina, Journalists @New Vision

KKWAYA za makanisa ag'enjawulo mu Bulabirizi bwa West Buganda zikung'aanidde mu lutikko e Kako mu Masaka City ne zikooloobya ennyimba za mazaalibwa.

Omulabirizi wa West Buganda, Rt. Rev. Henry Katumba Tamale n'omukyala Can. Elizabeth Julia nabo nga beenyigidde mu kuyimba ennyimba za mazaalibwa.

Omulabirizi wa West Buganda, Rt. Rev. Henry Katumba Tamale n'omukyala Can. Elizabeth Julia nabo nga beenyigidde mu kuyimba ennyimba za mazaalibwa.

Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ofiisi y'Obulabirizi ekuliddwa omuwandiisi, Can. Moses Kayimba ne Provost wa lutikko, Can. Eliab Nkambo Mugerwa n'abalala.

Kino bakikoze olw’okweteekerateekera okujjukira amazaalibwa ga Yesu Kristo ag'omwaka 2023. Kkwaaya ezikwetabyemu kubaddeko eya lutikko e Kako, Obusumba bw'e Kyotera, ey'e Kijjabwemi, Misanvu n'awalala.

Omulabirizi Henry Katumba Tamale n'omukyala Can Elizabeth Julia bazeetabyemu nabo ne beenyigira mu kulya mu ndago.

Kkwaya ya Paul eya lutikko e Kako ng'ekooloobya ennyimba za mazaalibwa.

Kkwaya ya Paul eya lutikko e Kako ng'ekooloobya ennyimba za mazaalibwa.

Abaawule nabo basomye ebyawandiikibwa ebigendera ku nnyimba zino ezikutte abazeetabyemu omubabiro.

Omwawule James Mubiru n'omukyala nabo balidde mu ndago nga bawerekerwako kkwaya y'Obusumba bwabwe obw'e Kyotera.

Ng'akubira, Omulabirizi Tamale alambise abakristaayo mu bukulu bwa Katonda okusindika Omwana we Yesu azaalibwe mu kiraalo n'ebigendererwa by'okuzZaawo omukwano n'abantu.

Kkwaya y'Obusaabadinkoni bw'e Kijjabwe mu Masaka City ng'ekooloobya ennyimba za mazaalibwa mu lutikko e Kako.

Kkwaya y'Obusaabadinkoni bw'e Kijjabwe mu Masaka City ng'ekooloobya ennyimba za mazaalibwa mu lutikko e Kako.

Abasongedde ku musaalaba n'amakulu gaagwo n’ategeeza nti kusembereza ddala omuntu ne Katonda we. Bp Tamale abagattiddeko obukulu bw'okusiima n’abasaba basiime ekirabo kya Katonda kye yabawa ng'abawa Omulokozi Yesu abanunule mu bibi ate abawe emirembe egya namaddala.

Abagambye nti Kristo ye yekka agaba emirembe mu butakkaanya bwonna. Wabula, Bp Tamale abawabudde ku butonde bw'ensi n’abasaba obutabutaataaganya. Asabye buli omu okwaniriza Kristo mu bulamu bwe.

Tags:
West Buganda
Masaka
Nnyimba
Poliisi