OBUKULEMBEZE bw’ennono obwa Bugisu obumanyiddwa nga Inzu ya Masaba obumaze emyaka 3 nga tebulina Umukuuka baalonze Jude Mike Mudoma nga Umukuuka III.
Ono yazze mu bigere bya Sir Bob Mushikori eyafa mu February wa 2021. Ng’amaze okufa waavaayo abaali beegwanyizza entebe eno era okukkakkana nga biyingiddemu ebyobufuzi.
Ekiwayi kya FDC kyaleeta John Amram Wagabyalire ate ekiwayi kya NRM ne kireeta Jude Mike Mudoma.
Waliwo omulala ayitibwa Yaaya Gidudu Masolo naye eyeesowolayo okuvuganya kyokka nga tamanyiddwa kibiina mwe yava.
Yayuugumya banne kyokka ng’amaanyi gali wakati wa FDC ne NRM. Embeera eyaliwo mu kiseera kino yali yaakusika muguwa nga buli gw’osisinkana akutegeeza nga ye Umukuuka omutuufu owa Inzu Ya Masaba.
Kino kyawalirizza Pulezidenti Museveni okutuma minisita w’ekikula ky’abantu Peace Mutuuzo okuyingira mu nsonga zino era yalagira okulonda kubeerewo basobole okufuna obukulembeze bw’ennono.
Wiiki ewedde ebika 26 ebya Bugisu byatudde ku kitebe kya disitulikiti e Mbale ne balonda Jude Mike Mudoma nga Umukuuka lll owa Inzu ya Masaba.
Abantu 16 be beetaba mu kulonda nga Jude Mike Mudoma yafuna obululu 15 ate ye John Amram Wagabyalire n’afuna akalulu kamu kokka.
Ng’okulonda kuwedde yalaga obutali bumativu ku byali bivudde mu kulonda ng’agamba nti kwabaddemu kyekubiira era tebaagoberedde Ssemateeka wa Inzu ya Masaba kubanga alagira ababaka abalina okulonda nga mu bano mulimu ba Babukusu abava e Kenya.
Mu kulonda kuno agamba tebaaliwo, era ye ssi mwetegefu kuva mu lubiri e Malukhu omugenzi Sir Bob Mushikori gye yamuleka, nga tagenda kukkiriza kulonda kuno okwalimu vvulugu.
Mu kwogera kwe Andrew Wodero, ssaabawandiisi w’oludda lwa Wagabyalire agamba nti abalina okulonda Umukuuka ssi bassentebe ba bika oba abakulu b’ebika wabula babaka abava mu bika 26 ebya Bugisu ekitaakolebwa mu kulonda Jude Mike Mudoma, era bagenda kuddamu bawandiikire minisita Mutuuzo ku nsonga z’okutuuza omuntu waabwe John Amram Wagabyalire nga Umukuuka III ow’e Inzu ya Masaba kubanga ye
yalondebwa mu mateeka gyebuvuddeko n’ababaka okuva mu bika 26 ebya Bugisu.
Jude Mike Mudoma agamba nti kye kiseera okukolera Abamasaba kubanga ebbanga lye bamaze ddene nga bali mu kusika omuguwa tewali kitambudde.
Nelson Wedayira munnamateeka wa Jude Mike Mudoma ate nga ye sipiika wa Bugisu Cultural lnstitution agamba nti abakulu b’ebika 26 okuva mu Bugisu wonna okulonda Umukuuka Mudoma kyali kiragiro okuva ewa minisita Mutuuzo nga tekikyasoboka kuyimirizibwa kubanga ne mu lwokaano John Amram Wagabyalire yalimu, ssinga lwali lumenya mateeka lwaki yalwetabamu?
Ssinga yawangula yandigaanyi okumutongoza? Ekimwogeza ebyo byonna kubanga yawangulwa, bw’aba ssi mumativu bagende mu kkooti era nayo tugenda kubawangulirayo kubanga obuwanguzi bwa Mudoma bwasalibwawo na maanyi ga balonzi.