AKULIRA eby’okulonda mu Elgon Region, Hajjat Sarah Bukirwa ategezezza ng’okusunsula ababaka mu Region bwe kwatambudde obulungi nga tewali n’omu yaremeseddwa kuwandisibwa.
Bukirwa yagambye nti ku disitulikiti 17 ezikola Region, Tororo yeyasinzizza abaagala okwesimbawo abangi nga baabadde 43 mubifo 7 ebikikirirwamu ate ng’abagala eky’omubaka omukyala baabadde 8.
Disitulikiti endala ezazeeko okufuna abangi kwabaddeko Palisa ne Sironko ezafunye abantu 23 buli omu ate ng’abakyala 4 bebaavudde e Palisa olwo Sironko nereeta 5 ate disitulikiti endala nezigoberera.

Hajati Bukirwa ng'ali n'abakungu abalala
“Twafunye ababaka kumpi mu buli kibiina okuli FDC, NRM, NUP, UPM, DF, ANT, NEED, SDP, PFF NE DP era bano bebasinze okulabika era ekiddako kubawa pulogulamu z’okunoonya akalulu bwezigenda okutambuzibwa kibatangire obutakonagana mubifo.
Bukirwa era yategezezza abagala eby’ababaka baaweze 358 mu region nga bebaasunsuddwa okuvuganya. Kubano 271 bagenda kukikirira constituencies ate 87 bakazi abagala okukikirira disitulikiti.
Bukirwa era yagambye nti bagenda kuddamu okusunsula abagala okuvuganya kubwa ssentebe wa disitulikiti ya Butalejja oluvannyuma lwa Joseph Muyonjo eyabadde yesimbyewo ku kaadi ya NRM okufa.

Abakulira eby'okulonda mu Elgon Region
Yagambye nti bataddewo olwa Monday ne Tuesday wiiki ejja olwo ekibiina kya NRM kifune anaakikwatira bbendera nti era nabo abayinza okuba nga baafikka kululi bakkirizibwa okujja okwewandiisa wabula nga batukirizza buli kyetagisa.
Yagambye nti nemu Mbale, waliwo eyali yesimbyewo kubwa ssentebe w’eggombolola eyafa ssaako kkansala w’omuluka e Bulambuli nga ebifo bino byonna bigenda kusunsulibwako abalala mu nnaku ezaatereddwawo.
Elgon Region erina disitulikiti 17 okuli Mbale, Mbale City, Sironko, Bulambuli, Kapchorwa, Kween, Bukwo, Budaka, Butebo, Palisa, Butalejja, Manafwa, Namisindwa, Buduuda, Tororo, Busia ne Kibuku