Amawulire

Ebibuuzo by’Obusiraamu bitandise

EBIBUUZO by’eddiini y’Obusiraamu ku ddaala lya siniya eyookuna (Idaad) ne S6 (Thanawi) byatandise eggulo ku Mmande mu ggwanga lyonna era ekitongole ekibitegeka kyayungudde bambega abawera okutangira okubikoppa.

Dr. Sheikh Ziyad Lubanga ng’alaga ebibuuzo abayizi bye bagenda okukola.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EBIBUUZO by’eddiini y’Obusiraamu ku ddaala lya siniya eyookuna (Idaad) ne S6 (Thanawi) byatandise eggulo ku Mmande mu ggwanga lyonna era ekitongole ekibitegeka kyayungudde bambega abawera okutangira okubikoppa.
Akulira ekitongole kino Dr. Ziyad Swaleh Lubanga yalangiridde ku Lwomukaaga nti
amasomo gonna gaatuuse dda ku bifo omunaana bye balina era abantu baabwe we bagenda okubifunira.
Ebifo bino kuliko; Kampala Centre egabira amasomero 53, Jinja egabira amasomero 13, ekya Bugerere (amasomero 14), Mbale (amasomero 8) Mbarara, Masaka, Arua ne Hoima.
Ebya S4 byakukolerwa ennaku mukaaga ate S6 ennaku munaana. Abayizi baatandise n’essomo lya Quran Memorization ku masomo 10 aga S4. Abo bakola amasomo 15. Dr. Lubanga yagambye nti abayizi S4 bali 2,987 ate S6 bali 777. Wiiki ewedde ebibuuzo byonna byabadde ku kitebe ky’ebibuuzo ekya Islamic Examination Board e Bwaise. Abayizi baasabiddwa obutatya kuba ebibuuzo byonna bisimbuddwa mu bibasomesebwa.
Abazadde nabo baasabiddwa okuwa abaana obudde obumala batuuke ku masomero mu
budde

Tags: