Bw’oba olina obulwadde bwa ssukaali naddala ekika kya type 2, genderera. Dr. Kizito agamba nti, ekikajjo mu butonde kirina ssukaali mungi era omulwadde wa sukaali bw’akirya kirinnyisa ssukaali gw’alina mu mubiri, y’ensonga lwaki alina okugendrera ng’akirya.
Abantu abalwanyisa omugejjo, bakyewale kuba ssukaali akirimu agezza.
Bw’oba okolamu juyisi, olina okuba omuyonjo ekisusse okwewala okulumbibwa obuwuka obuyinza okukulwaza.