Yiino emmotoka y'ebyewuunyo edduka kkiromita 209 mu ssaawa emu!

Mmotoka ya naggagga asinga mu nsi erimu ne  bookisi omuli ebisobola okukozesebwa nga ku mulwadde omuyi

Yiino emmotoka y'ebyewuunyo edduka kkiromita 209 mu ssaawa emu!
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ensi n'ebyewuunyisa #Agafa ku bidduka #Mmotoka #Nagagga #Bwewuunyo

OMUSAJJA asinga obugagga mu nsi yonna Elon Musk, buli kimu ekikye kya byewuunyo. Olwaleero ka tutunuulire mmotoka ye.

Emmotoka eno eyitibwa Tesla Cyber beast yakoleddwa kkampuni eyitibwa Tesla era omu ku bannannyini. Egula bwesedde bwa ssente. Mu ddoola egula 99,990 (ze za Uganda 380,524,944).

Mmotoka N'entwala Z'esobola Okwetikka.

Mmotoka N'entwala Z'esobola Okwetikka.

Ekozesa masannyalaze olwo n’eryoka eweenyuuka emisinde egitaliiko egyenkana egituuka ku bwangu bwa 60 buli ssaawa mu butikitiki obutawera 2.9.

Erina endabirwamu ezitayitamu masasi nga n’ebigiri munda byakolebwa mu kyuma kya ‘steel’ ekigumu ennyo ng’agiri munda tayinza kukosebwa ne bw’eba etomedde bbomu oba ekyuma kyonna ekiyinza okugongobaza emmotoka eza bulijjo.

Mmotoka Bw'erabika Munda Waayo.

Mmotoka Bw'erabika Munda Waayo.

Enkula yaayo efaananako ekyombo ekigenda ku mwezi ng’eriko n’obusobozi obunaanuuka ne yeewanika waggulu ssinga ebeera mu bifo ebirimu ebigulumu oba ebinnya ebingi oba ebiyinjayinja.

Ejjudde tekinologiya awerekera ow’ennyonyi ng’ebiragiro ebikulu agivuga abiweera ku kkompyuta ekyanguyiza ennyo avuga nga bino byonna bikolera ku masannyalaze agakung'aanyizibwa ku bbaatule zaayo buli lw’etambula.

 

Edduka mayiro ezisoba mu 500 nga tezzeemu kucaajingibwa ng’erimu akasenge omuntu mw’asobola okwekweka n’atatuusibwako bulabe bwonna nga tekayitamu kyakulwanyisa kyonna k’ebeere bbomu.

Eriko amataala agatannalabwa ko ku mmotoka ndala ng’emabega ne mu maaso mawanvu okuva ku nsonda y’emmotoka emu okutuuka ku ndala nga gaateebwako olububi olw’enjawulo ng’emmotoka ne bw’etomera ekintu tegamala gaatika.