Amawulire

Katikkiro Mayiga atenderezza omukyala ategese ekivvulu kya Ggwanga Mujje ekya Jose Chameleon

OMULIMU gw'okutegeka ebivvulu gumanyiddwa kwenyigirwamu baami kyokka Mariam Mutakubwa amanyiddwa nga Biggie owa Big Events yasalawo agwenyigiremu era omulundi guno y'ategese ekivvulu ky'Omuyimbi Nnakinku Dr. Jose Chameleon.

Katikkiro Mayiga ng'ali ne Mariam Mutakubwa
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OMULIMU gw'okutegeka ebivvulu gumanyiddwa kwenyigirwamu baami kyokka Mariam Mutakubwa amanyiddwa nga Biggie owa Big Events yasalawo agwenyigiremu era omulundi guno y'ategese ekivvulu ky'Omuyimbi Nnakinku Dr. Jose Chameleon.

Katikkiro ne Biggi

Katikkiro ne Biggi

Oluvanyuma lw'okutegera ekyo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza obuvumu bw'omukyala Ono n'agamba nti kino kijja kutumbula omulimu guno nga n'abakyala bagwenyigiramu.

Biggie atambudde ne Chameleon abadde ajja e Bulange- Mmengo okusisinkana Katikkiro Mayiga.

Mariam Mutakubwa amanyiddwa nga BIGGIE nga bw'afaanana

Mariam Mutakubwa amanyiddwa nga BIGGIE nga bw'afaanana

Chameleon agambye nti Biggie yamusaba amuwe omukisa amutegekeko alabe engeri gyanatambuza emirimu era naye n'akkiriza okugumuwa n'okulaga nti abakazi tebasobola kutuula butuuzi waka wabula buli mulimu bagusobola.

Ekivvulu Kya Chameleon ekiri mu ggiya, kyakubeerawo nga February,10,2023 ku Cricket Oval mu Kampala.

Tags: