Endwadde z'embuzi 9 z'olina okwerinda n'enzijanjaba yaazo

9th January 2024

Dr. James Muwanga, omusawo w’ebisolo era omulunzi w’embuzi, agamba nti, kigenda kukubeerera kizibu okuyitanga omusawo buli lunaku ng’oliko embuzi ezirwadde kuba buli lw’ajja obeera olina okumusasula

Endwadde z'embuzi 9 z'olina okwerinda n'enzijanjaba yaazo
NewVision Reporter
@NewVision
#Kulunda #Mbuzi #Ndwadde #Okwerinda #Musawo #Bisolo

Dr. James Muwanga, omusawo w’ebisolo era omulunzi w’embuzi, agamba nti, kigenda kukubeerera kizibu okuyitanga omusawo buli lunaku ng’oliko embuzi ezirwadde kuba buli lw’ajja obeera olina okumusasula so nga waliwo by’osobola okwekolera singa obiyiga ate nga byangu.

1. EBIWUKA: Ng’oggyeeko ebiwuka by’omu lubuto, waliwo ebiwuka ebitawaanya embuzi naddala ento omuli; enkukunyi, ebisekere n’ebirala nga bino biva ku bucaafu.

2. HYPATHONIA: Buno businga kutawaanya mu biseera bya nkuba nga buvaako embuzi okulemererwa okulya, okuvaamu embuto, abaana okufi ira munda, ssennyiga, ebizimba n’ebirala.

Omusawo W'ebisolo Ng'akebera Embuzi.

Omusawo W'ebisolo Ng'akebera Embuzi.

3. OBUMWAMWAMWA: Buno bukuba embuzi amabwa ku mimwa n’ebigere naddala obuto ne kalemwa okuyonka n’okutambula. Wano olina okutangira obubuzi okufuluma
ng’omusulo gukyali ku muddo.

4. EKIDDUKANO: Embuzi zitawaanyizibwa nnyo ekiddukano naddala mu biseera by’enkuba oba nga yaakaggwaayo nga kisinga kuva ku njoka. Wano olina okubugema
emirundi ena omwaka (enkuba ng’egenda kutandika okutonnya ne bw’ebeera eweddeyo ate obuto bugeme buli myezi ebiri ng’okozesa eddagala lya Sulfur.

5. OKUKALUUBIRIZIBWA MU KUSSA: Buno bulimu obulwadde obusinga okutawaanya bwa mirundi ebiri okuli; CCPP buno bwa bakitiriya. Buno buzinu bwa kujjanjaba nga bulumbye ekisibo ng’ekisinga kwe kubugema.

Obulala PPR (Pest de Petit Ruminantes) nga buno bwa kawuka (Vayiraasi). Buno buvaako embuzi okufa n’okusowola era nga nabwo osobola kubutangira na kugema.

6. OKUVAAMU EMBUTO: Kino kisinga kuva mu bbula lya biriisa mu maama kuba embuzi eri eggwako ebeera yeetaaga okuliisa emirundi ebiri ku ngeri gy’ebadde erya bulijjo.  Waliwo n’obulwadde obulala ng’omusujja gwa bulusera nga buno bwa kugema ng’okozesa Brodo atonnyezebwa ku maaso. PPR nga buno singa bukwata embuzi, bw’ogijjanjaba n’ewona etwala emyaka ebiri nga tezzeemu kuwaka.

7. CLOSTRIDIALS: Buno bukwata kyakubiri mu bulwadde obusinga okutta embuzi. Kano kawuka kika kya bakitiriya nga kakwata kibumba, ensigo, ebyenda n’omutima ne bifuuka ebiddugavu.

Buno buvaako embuzi okufuuka omusaayi, okufa ekikutuko n’abalala ne bakiyita okulya akawulula! Buno osobola okubugema ku myezi esatu nga maama ali lubuto okutangira abaana abagenda okuzaalibwa. Wano ogenda kusobola okutaasa abaana ebitundu nga 80 ku 100.

8. OKULUMIZIBWA MU NNYINGO: Zino ziva ku kawuka ka bakitiriya akatawaanya ennyo embuzi mu biseera by’enkuba ne kayita mu binuulo olwo ne katambula okutuuka mu nnyingo.

9. OLUKUKU: Luno lubeera ku lususu lw’embuzi era zivaako obwoya n’okulemererwa okussa ng’osobola kubutangira n’okukakasa nti, ekisibo kiyonjo era embuzi osobola okuzifuuyira n’okwongera ku mpewo eyingira mu kiyumba.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.