Ebintu 14 by'olina okwetegereza ng'otegeka okuzimba mu kifo ekifunda

13th January 2024

Yinginiya Darwin Owumugisha agamba nti omuntu ali ewafunda tewali nsonga lwaki oyawuza ebisenge buli wantu.

Ebintu 14 by'olina okwetegereza ng'otegeka okuzimba mu kifo ekifunda
NewVision Reporter
@NewVision
#Okuzimba #Akeezimbira #Nnyumba #Kalina

Yinginiya Darwin Owumugisha agamba nti omuntu ali ewafunda tewali nsonga lwaki oyawuza ebisenge buli wantu.

Osobola okuzimba ekisenge ekigazi ekyawamu omutali bisenge byawula n’oteekamu ebintu ng’eddiiro omuliirwa, eddiiro omutuulwa n’effumbiro.

Ebintu ebyo waggulu osobola okubyawula n’entebe oba kateni mu kifo ky’okussaawo ebisenge ate ebyongera okufunza ekifo. Bwe kituuka mu ddiiro erituulwamu entebe zisaana kupangibwa nga zeetunuulidde era nga ziri mu kifo kimu.

Eddiiro Nga Ligatta Awaliirwa N'awatuulwa.

Eddiiro Nga Ligatta Awaliirwa N'awatuulwa.

Bwe kituuka ku dayiningi awaliirwa, kirungi okugula emmeeza okuliirwa nga si nnene nnyo etwala ekifo ekigazi. Esaana kubeera ya kigero kwe mugya ng’abaawaka ne
mutafunda. 

Buli ekifo bwe kibeera nga kyetadde bulungi kyongera ekitangaala eky’obutonde awaka era bwobeera munda obeerera ddala n’akakwate ku bintu ebiri wabweru.

Kyokka bwe kituuka ku bisenge omusulwa olina okuteekamu ebisenge ebizimbiddwa olw’okukuuma twekisize mu bantu. “Enzimba yonna gye bakuwabudde oba gyoyagala olina okukakasa ng’eteekebwa ku pulaani ku ntandikwa oleme okutawaanyizibwa n’okumenya buli kadde” Owomugisha bw’agamba.

Bwe kituuka okukomerera ennyumba kirungi okukozesa akasolya aka bulijjo kuba bwe kayitirira okubeeramu dizayini ku nnyumba entono tekanyuma kyokka era zibeera za buseere.

Mu mbeera y’emu , ennyumba erina okubeera ne siiringi ng’eri waggulu bulungi, amadirisa amanene n’enzigi ennene. Bino biyamba ekifo okulabika ng’ekinene, okuyingiza empewo obulungi. Ebifo nga ekinaabiro kirina okubeerako eddirisa okusobola okuyingiza ekitangaala.

Bwe kituuka ku nzigi z’omu nnyumba asemba okwettanira enzigi ze basindika nga zidda ebbali ku bisenge kuba zitwala ekifo kitono okusinga eziggulira wabweru. Zino
zikola nnyo ku nzigi z’omu bisenge ebisulwamu n’ebinaabiro.

Kyokka mu kuteekamu enzigi zino olina okukwatagana n’ow’amasannyalaze oleme kukola nsobi we zitambulira obutakosa bintu nga swiiki ne soketi z’amasannyalaze.

Ahmad Kizza ow’e Kyengera ng’azimbye ku nnyumba eziwera agamba nti kirungi okukozesa ebifo byonna obulungi naddala ebitatera kwettanirwa. Osobola okussa ku kisenge ekifo w’otereka ebitabo, okukozesa ekifo ekiri wansi w’amadaala.

Bwe kituuka ku kiyungu tewali nsonga lwaki tossaamu bifo mwotereka ebintu ebiwera ne mulema kubissa wabbali kusaasaana. Ekifo okuva wansi okutuukira ddala ku siiringi kiteekemu ebintu oleme kubuukamu mabanga.

Bwoba ozimba wettanira wooduloopu eri munda mu kisenge okusinga okugula eziteekebwa wabweru okwewala okufunda.

Mu ngeri endala ey’okugaziyaamu ekifo weeyambise endabirwamu mu nnyumba kuba ziyingiza ekitangaala okuva mu mayumba n’okulabisa ekifo ng’ekinene obulungi.\

Munda mu nnyumba kozesa langi entangaavu kuba enzikivu zongera okulabisa ekifo ng’ekifunda. Langi ezaaka ziyamba n’okuyingiza ekitangaala ky’obutonde. Badru Kawuma ow’e Nateete agamba nti yali tamanyi nti ekifo maama we kye yamuwa ekya ffuuti 20 ku 60 nti asobola okukikozesa n’azimbamu ennyumba.

Kalina Ezimbibwa Mu Kifo Ekifunda.

Kalina Ezimbibwa Mu Kifo Ekifunda.

Kyokka bwe yakozesa abakugu baamukubira pulaani n’asitula ennyumba za kalina ez’ebisenge ebibiri. Kye yazuula bwoba otereddemu mu byensimbi ekifo ekifunda
ekifunamu nnyo ng’ozimbye kalina. 

Kino kikuyamba okuzimba ng’odda waggulu olwo wansi n’okozesa ekifo kitono. Bw'obeera osazeewo okuzimba ennyumba y’amaka eya kalina, kirungi ebintu nga amadiiro n’effumbiro okubissa wansi olwo waggulu n’ossaayo ebisenge mwe musula.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.