Ali olubuto by’oteekeddwa okukola ng’omusujja gukukutte

23rd November 2023

OMUSUJJA bwe bumu ku bubonero obulaga nti omubiri gwo gulina ekikyamubw’otolina kubuusa maaso ng’oli lubuto.

Ali olubuto by’oteekeddwa okukola ng’omusujja gukukutte
NewVision Reporter
@NewVision
#omusujja #owoolubuto

Bya Musasi Waffe

OMUSUJJA bwe bumu ku bubonero obulaga nti omubiri gwo gulina ekikyamu
bw’otolina kubuusa maaso ng’oli lubuto.

Oyinza okufuna omusujja ng’ofunye ssennyiga, yinfekisoni, ebiwuka mu lubuto oba ng’olina obukosefu ku nsigo.

Dr. Herbert Kalema, omusawo w’abakyala mu Masaka Regional Refferal Hospital agamba nti bw’ofuna omusujja, oyinza okutandika okwokya, okukankana,
omubiri okukuluma, okuwulira ng’ennyingo zikumenyese, toyagala kulya, okunafuwa
n’okutuuyanirira.

KIKI KY’OLINA OKUKOLA?
Amangu ddala ng’olabye obumu ku bubonero obwo, sooka oteeke katawulo akabisi mu kyenyi okukkakkanya ku bbugumu.

Oyinza okumira Panadol nga bwe weeteekateeka okugenda mu ddwaaliro mu
bwangu.

Okunywa ennyo nakyo kikuyamba kuba kitangira omubiri okuggwaamu amazzi.
Mu ngeri yeemu, olina okubeera n’essimu y’omusawo gw’osobola okumukubira
ng’ofunye obuzibu n’akubuulira eky’okukola kuba oluusi obulwadde buyinza okukukwata ng’oli wala n’eddwaaliro oba mu ttumbi.

Byonna bw’omala okubikola, genda mu ddwaaliro bakwekebejje okumanya obuzibu we buva ojjanjabibwe okusobola okutaasa obulamu bwo n’obw’omwana wo.

Togeza n’okola ensobi olw’okuba owulidde otereddemu, n’otogenda mu ddwaaliro
kubanga weetaaga omusawo okukukebera okuzuula obuzibu kwe bwavudde.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.